Leviticus 5:15-18

15 a“Omuntu bw’anazzanga omusango ng’asobezza mu bimu ku ebyo ebitukuvu bya Mukama nga tagenderedde, anaaleetanga eri Mukama ekiweebwayo kye olw’omusango, endiga ennume etaliiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye; eneebalirirwanga omuwendo ogugigyamu mu ffeeza, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, ye sekeri
sekeri yenkanankana gulaamu kkumi n’emu n’ekitundu
. Ekyo nga kye kiweebwayo olw’omusango.
16 cEra anaaliwanga olw’ekyo kye yazzaako omusango mu bitukuvu bya Mukama, era anaayongerangako ekitundu kimu ekyokutaano eky’omuwendo gw’ekyo ky’anabanga asobezza; engassi eyo anaagiwanga kabona. Kabona anaatangiririranga omuntu oyo n’endiga ennume ey’ekiweebwayo olw’omusango, bw’atyo anaasonyiyibwanga.

17 d“Omuntu yenna bw’anaayonoonanga n’akola ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ne bw’anaabanga takitegedde, anazzanga omusango. 18 eAnaaleeteranga kabona endiga ennume eteriiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye, ng’ebalirirwamu omuwendo ogugya mu kiweebwayo olw’omusango. Kabona anaamutangiririranga olw’ekisobyo ky’anaabanga akoze nga tagenderedde, era anaasonyiyibwanga.
Copyright information for LugEEEE